Ecclesiastes 7

Okulondawo Ekisinga Obulungi

1 aObwatiikirivu bw’erinnya eddungi businga eby’akawoowo ebirungi;
n’olunaku olw’okufa lusinga olwo olw’okuzaalirwako.
2 bKirungi okulaga mu nnyumba ey’abakungubaga
okusinga okulaga mu nnyumba ey’ebyassava.
Kubanga buli omu wa kufa,
ekyo kiteekwa okuba ku mutima gwa buli muntu.
3 cOkunakuwala kusinga okuseka,
kubanga amaaso amanakuwavu gazzaamu omutima amaanyi.
4 dOmutima gw’omugezi guba wamu n’abo abali mu nnaku;
naye ogw’omusirusiru guba mu kusanyuka.
5 eKirungi okussaayo omwoyo ku kunenya kw’omuntu ow’amagezi
okusinga okuwuliriza ennyimba z’abasirusiru.
6 fOkuseka kw’abasirusiru
kuli ng’okutulikatulika kw’amaggwa agali mu muliro gw’entamu
Amaggwa bwe gaba gookebwa, gatulikatulika, ne gavaamu n’omukka, kyokka ebbugumu ly’omuliro gwago tegubugumya bagwota mu biseera eby’obutiti.
;
na kino nakyo butaliimu.

7 hKya mazima, okunyigirizibwa kufuula ow’amagezi okuba omusirusiru,
n’enguzi efaafaaganya okutegeera.

8 iEnkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo,
n’omugumiikiriza asinga ow’amalala.
9 jTosunguwalanga mangu nga waliwo akusokaasoka,
kubanga obusungu bubeera munda y’abasirusiru.

10Teweebuuzanga nti, “Lwaki ennaku ziri ez’edda zisinga zino?”
Kubanga si kya magezi okwebuuza ekibuuzo ng’ekyo.

11 kAmagezi kintu kirungi, okufaanana ng’eky’obugagga ky’obusika,
era kigasa abo abakyalaba enjuba.
12Amagezi kiwummulo,
ng’ensimbi bwe ziri ekiwummulo,
naye enkizo y’okumanya y’eno:
amagezi gakuuma obulamu bw’oyo agalina.
13 lLowooza ku Katonda ky’akoze:

ani ayinza okugolola ekyo ekyakyama Katonda kye yakola?
14Ebiseera bwe biba ebirungi, sanyuka;
naye bwe biba ebibi, kirowoozeeko;
Katonda eyakola ekimu
era ye yakola ne kinnaakyo.
Noolwekyo omuntu tayinza kuzuula kirimubaako
mu nnaku ze ez’omu maaso.
15 mMu bulamu bwange buno obutaliimu ndabye bino byombi:

omutuukirivu azikiririra mu butuukirivu bwe,
n’omukozi w’ebibi n’awangaalira mu bibi bye.
16Teweefuulanga mutuukirivu ayitiridde
wadde okwefuula ow’amagezi ow’ekitalo;
oleme okwezikiriza.
17 nTobanga mwonoonyi kakuzzi
wadde okuba omusirusiru;
oleme okufa ng’ekiseera kyo tekinnatuuka.
18 oEkyo kirungi okiyige, na kiri oleme kukibuusa maaso,
kubanga oyo atya Katonda abyewala okubiyitiriza.

19 pOw’amagezi ne bw’aba omu mu kibuga,
aba w’amaanyi okusinga abakulembeze ekkumi ab’omu kibuga ekyo.

20 qDdala ku nsi tekuli muntu mutuukirivu,
atakola bibi.

21 rTowulirizanga buli kigambo, bantu kye boogera,
si kulwa ng’owulira omuweereza wo ng’akukolimira,
22kubanga naawe okimanyidde ddala mu mutima gwo,
ng’emirundi mingi okolimidde abalala.
23 sEbyo byonna nabyekenneenya n’amagezi ne ŋŋamba nti,

“Mmaliridde okuba omugezi,”
wabula kino kyandi wala.
24 tAmagezi ne bwe gaba ga kikula ki, gali wala nnyo era tegalojjeka,
kale ani ayinza okugavumbula?
25 uBwe ntyo ne nkyusa omutima gwange nnoonye okutegeera,
nekkanye, era nnoonyereze amagezi ndowooze ne ku bintu nga bwe biri,
n’okutegeera obusirusiru bw’okukola ebibi:
n’eddalu ery’obusirusiru.

26 vEkintu kye nalaba eky’obulabe ekisinga okufa,
ye mukazi alina omutima ogusendasenda,
era ogusikiriza,
era emikono gye gisiba ng’enjegere.
Oyo ayagala Katonda, y’awona omukazi oyo,
kyokka ye omwonoonyi talema kugwa mu mutego gwe.
27 wOmubuulizi agamba nti, “Laba, kino kyenvumbudde:

“Okugatta ekintu ku kinnaakyo, okuzuula enkola y’ebintu,
28 xbwe nnali nga nkyanoonyereza
nabulako kye nzuula,
okuggyako okulaba omusajja omwesimbu omu mu basajja lukumi,
kyokka mu bakazi bonna ssaalabamu n’omu atuukiridde.
29Wabula kino kyokka kye nalaba:
Katonda yatonda omuntu nga mugolokofu,
naye abantu ne beenoonyeza ebintu ebirala bingi.”
Copyright information for LugEEEE